Amakuru aryoshye kandi agezweho

banner image

Like US On Facebook

banner image

Ababaka mulwanirire abantu bave mu bwavu - Museveni

PULEZIDENTI Museveni akubirizza ababaka ba palamenti okulwanirira abantu abaabalonda baleme kubazza mu byabufuzi.
Bino yabyogedde aggulawo ekyuma ky’ennaanansi abalimi kye beetandikirawo mu kitundu kya Ndorwa East mu Disitulikiti y’e Kabale ekyazimbibwa e Maziba okubayamba okukamula ennaanansi ze beerimira.
Pulezidenti yabadde mu kulambula ekitundu kino nga yayaniriziddwa Katikkiro, Dr. Ruhakana Rugunda ne baminisita okwabadde ow’ebyenjigiriza, Jessica Alupo n’abalala.
Mu kwogera kwe, Pulezidenti yategeezezza nti omubaka yenna akiikirira abantu ateekeddwa okubalwanirira okubaggya mu bwavu si kubazza mu byabufuzi kuba tebibayamba.

Ku ky’enguudo abantu ze beemulugunyaako, Museveni yagambye nti wadde tezinnayiibwamu kkolaasi kyokka si y’ensonga gye bandibadde beesibako nti y’ebasibyeko obwavu wabula banyiikire okukola balwanyise obwavu naddala mu maka.
Yasiimye abalimi b’ennaanansi n’abakulembeze b’ekitundu kya Maziba okwongera omutindo ku bye balima n’abasaba okugenda mu maaso. Omubaka akiikirira Ndorwa West mu Palamenti, David Bahati yajjukizza Pulezidenti ebimu ku bye yabasuubiza ng’okutereeza amasannyalaze mu ddwaaliro lya Maziba n’okukola oluguudo.
Ababaka mulwanirire abantu bave mu bwavu - Museveni Ababaka mulwanirire abantu bave mu bwavu - Museveni Reviewed by ibigezwehobyose on Wednesday, June 24, 2015 Rating: 5

Random Post

Powered by Blogger.