DR. Stella Nyanzi ateze gavumenti akatego mu kkooti n'alemesa
abajulizi baayo bana abaabadde baleeteddwa okumulumiriza bwe yakubye
ebituli mu misango egyamuggulwako n'asaba omulamuzi gigobwe ate naye
amute.
Bya ALICE NAMUTEBI
DR. Stella Nyanzi ateze gavumenti
akatego mu kkooti n'alemesa abajulizi baayo bana abaabadde baleeteddwa
okumulumiriza bwe yakubye ebituli mu misango egyamuggulwako n'asaba
omulamuzi gigobwe ate naye amute.
Oludda oluwaabi lwabadde lwetegefu
okutandiika okulumiriza Nyanzi era lwazze n’abajulizi bana okwabadde
abapoliisi ne looya Dalton Opwonya, atuula ku kakiiko akalwanyisa
obuseegu aka 'pornographic committee'.
Opwonya yabadde asitusse atandiike
okulumiriza Nyanzi looya we, Isaac Ssemakadde kwe kutegeeza omulamuzi
Gladys Kamasanyu owa kkooti ya Buganda Road nti balina ensonga
ez’amaanyi nga we banaamalira okuzimunnyonnyola, obujulizi bw’oludda
oluwaabi ajja kuba takyetaaga kubuwulira kubanga ajja kufundikira
emisango egyaggulwa ku Nyanzi agigobye.
Ssemakadde yategeezezza kkooti nti
abaggula ku Nyanzi emisango baakola ensobi mpitirivu ezitakkirizibwa mu
mateeka kubanga tosobola kuddira musango gumu ate n’ogugattamu emisango
emirala nga etaano!.
Yawadde eky’okulabirako nti mu musango
ogusooka ogw’okukozesa obubi yintanenti naddala omukutu gwa Facebook,
oludda oluwaabi lwagamba nti Nyanzi yateekako ebigambo eby’obuseegu,
eby’obukaba ate nga biwemula.
Yagambye nti okusinziira ku tteeka lya
MCA lye bakozesa okuvunaana Nyanzi, bw’ogamba nti ebigambo byali bya
buseegu, bya bukaba era biwemula giba emisango esatu gy’oteekeddwa
okwawula kyokka gino gyonna bagiteeka mu musango gumu ogw’okukozesa
obubi yintanenti nga kati ye nga looya we afuna obuzibu okumuwolereza
kubanga tamanyi musango ki mutuufu gw'alina kuwoza.
Yagasseeko nti mu musango gw’okubiri
kigambibwa nti Nyanzi yataataaganya eddembe lya Pulezidenti Museveni
ng'ayita mu bye yawandiika ku Facebook kyokka ne bagattako nti Nyanzi
yayingirira Museveni mu biseera bye by'abeera nga ebyeddembe
n’okutaataaganya obulamu bwe obw'ekyama.
Wano era yannyonnyodde nti omusango guno
gwagattibwamu emisango emirala nga 7 ekimenya amateeka ate nga
n’ebigambo Nyanzi bye yateeka ku Facebook oludda oluwaabi terunnyonnyola
oba nga ddala yabiyisa mu luyimba, mu katambi k’ebifaananyi, mu
maloboozi obanga byali mu lugero.
Ssemakadde yawadde omulamuzi Kamasanyu
ensala z’abalamuzi ba kkooti Enkulu eziwerako abalagibwa ensobi
ezaakolebwa mu misango poliisi gye yaggula ku bantu nga bonna
bakomekkereza emisango bagigobye ne bata abaali bavunaanibwa, bw'atyo
n'amusaba naye akole nga balamuzi banne.
Omulamuzi Kamasanyu yagambye nti agenda
kwetegereza ensonga ezimutegeezeddwa era awe ensala ye oba nga
kisaanidde okugoba omusango n'okuyimbula Nyanzi oba okulagira oludda
oluwaabi okugenda mu maaso n’okuleeta abajulizi.
Nyanzi amaze emyezi ebiri mu kkomera e
Luzira ku misango gy’okozesa obubi emikutu gya yintanenti nga mu bigambo
bye yawandiika teyakoma ku kulumba Museveni wabula yagattako ne nnyina.
Nyanzi yagaana eby’okumweyimirira
n'ategeeza omulamuzi nti kaasigale e Luzira asobole okuyigiriza basibe
banne abakyala engeri gye bakozesaamu Facebook.